John 10:14-18

14 a “Nze ndi musumba mulungi, n’endiga zange nzimanyi era nazo zimmanyi. 15 bNga Kitange bw’ammanyi, era nga nange bwe mmumanyi, bwe ntyo bwe mpaayo obulamu bwange olw’endiga. 16 cNnina n’endiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba n’omusumba omu. 17 dKitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize. 18 eTewali n’omu abunzigyako, wabula mbuwaayo lwa kwagala kwange. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddizza. Ekyo Kitange ye yakindagira.”

Copyright information for LugEEEE